Ssekiriba Kya Ttaka
Ekibiina kino kyetabwamu Abakristu bonna abeewaddeyo okulumirwa emyoyo egiri mu puligaatooli nga bayita mu ssaala okugisabira.
Bano beebamu ku bantu abaakitandikawo;
Mr. Mwebe Vincent, Mukyala Namuddu, Mr. Pule N’omugenzi Solome Naluwooza Walusimbi
Kati kikulemberwa Omulongo Charles Wasswa Kawooya.
EBIGENDERERWA
- Kusabira myoyo gyonna egiri mu puligaatooli awatali kusosola na gumu.
- Okujjukiza abantu nti ffena lye kkubo lye tulikwata, tujjukirenga bannaffe abaatufaako.
- Okunnyikiza mu mitima gy’Abakristu nti puligaatooli kye kifo eky’ettukulizo omukristu afa n’ekibi eky’ekisa gyayitira nga tannatwalibwa mu ggulu.
- Okweyisa obulungi mu nsi n’okukola ebikolwa eby’ekisa nga tuyamba abali mu bwetaavu.